Revelation of John 4:6-8

6 aNe mu maaso g’entebe eyo waaliwo ekiri ng’ennyanja ey’endabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n’emabega waabyo nga biri wakati w’entebe ey’obwakabaka n’okugyetooloola.

7 bEkisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka. 8 cBuli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti,

“Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna, Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”
Copyright information for LugEEEE